Rotarian Lubowa Ssebina Gyaviira oluvudde ku kitebe kya NUP ayolekedde butereevu e Masaka okwegatta ku BannaMasaka abegattira mu kibiina kyebyenkulakulana ekiyitibwa Tukolerewamu Development Group(Mpugwe) gyeyayitiddwa nga Omugenyi omukulu ku mukolo ogwokuggalawo omwaka.
Ssenkulu wa LUBOWA SSEBINA FOUNDATION abuulidde bamemba ku bizibu ebyolekedde abaana baffe eby’okukozesa ebiragalalagala, wamu nensonga endala eziri ku mental health, era wano akkatiriiza ensonga y’okulaba nga tuziyiza okusinga okuwonya.
Owek. Ssebina ayongedde nakattiriiza ebigambo by’omukulembeze H.E Robert Kyagulanyi byanyonyodde eggwanga mu press conference ebadde ku kitebe kya NUP.
Mwami Lubowa yebaziza Bamemba olw’okwekumakuma era nabebaza okumuyita okulaba nga abegatako okusobola okutwaala ekibiina kino maaso. Abasabye okukwata empola ebintu bino era nabategeeza nti mu kaseera kano, tukyesindika bwesindisi okulaba nga emirimu egyokwekulakunya gitambulira ddala bulungi.
Mr. Lubowa bano abawadde obutebe kikumi(100) mubuliwo | Mr. Lubowa awadde obutebe kikumi(100) ekibiina kya Tukolerewamu Development Group (Mpugwe)