Omutaka Namuyimba Shawn Tendo, Omutaka Omukulu Owakasolya ak’ekika kye’ Ngo alonze Omwami Lubowa Ssebina Gyaviira nga Katikkiro omugya Owekika kye Ngo.
Omukolo gubadde ku Butaka bwekika kino e Butambala era nga gwetabiddwako abantu abenjawulo ababadde bazze okulamaga ku butaka bwabwe.
Bazzukulu ba Mutesasira abeddira engo bakede kweyiwa kumbuga yekyika kyabwe e buteesasira Bukesa Butambala okusobola okulamaga .
Kumukolo guno kwetabiddwako abakungu okuva mu gavumenti eyawakati ne Mengo okubade jjaja wekika kyengeye Jjaja kasujja, katikiro wekyika kyemamba gabunga, abayimbi okubade Kabako asanyusiza abantu nga ne Eddie Mutwe talutumide mwana
Kumukolo gwe gumu katikiro wekika kino omugya Owek. Lubowa Sebina Gyaviira alangiliddwa mubutongole wakati mu mizira okuva eri abalangira nabambejja.
Jjaja Mutesasiira Namuyimba Shawn Tendo asoose kwagaliza katikkiro we omugya obukulembeze obulunji era Owek katikkiro Lubowa Sebina nasuubiza jjaja we wamu nabazukkulu nga bwatagenda kutiriira muntu yena nga awereeza ekyika kye.
Katikiro awezze okutandikirawo emirimu nga afeffeta buli Muzira Ngo yoona gyaali abakunganyiize mu tterekero elyawamu.
Awezze eri Jjajja we okumaliriiza Enyumba y’okubutakka mu bunambiro era asinzidde wano nalangilira Embaga mawuuno eya Jjajja nga awasa Jjajja Mukyaala eyokubeerawo omwaka ogujja. Yogaayoga Ssebo Owekitiibwa Lubowa Ssebina Gyaviira
LUBOWA SSEBINA FOUNDATION-MUTIMA MULUNGI🩷
Olukiiko olukulembeze neba Memba bonna aba Lubowa Ssebina Foundation, tuyozayoza Ssenkulu w’ekitongole Kino Owek. Rotarian Lubowa Ssebina Gyaviira olw’ekkula ly’otuseeko ely’okulondebwa kubwa Katikkiro bw’eKika Ky’Engo.
Twebaza Jajjaffe Omukulu w’akasolya k’ekika Ky’Engo Omutaka Namuyimba Tendo olw’okulengera obusobozi mu Musajja Wa Kabaka Lubowa Ssebina Gyaviira n’omukwasa obuvunanyizibwa buno okukumakuma abazzukulu mu Kika Kyonna
Ddala olonze bulungi nyo kubanga Omuzukulu Lubowa Ssebina Gyaviira musajja Mukozi nyo, muntu mulamu, amanyi abantu, awuliriza, mukulembeze ku mitendera mingi ddala, mwetowaze, muyivu ddala eyakuguka mu kubala ebitabo, mwesimbu, tasosola ayaniriza buli muntu, munna byankulakulana ayagaliza buli omu, ddala mukama yamuwa ebitone bingi
Tweyanzizza nyo Obwami Ayi Bbaffe🙏
#Lubowa Ssebina Foundation-Mutima Mulungi🩷
#Ku lw’enkulakulana Ey’omuggundu🇺🇬