Ekibiina ki LUBOWA SSEBINA FOUNDATION nga kikiriddwa abamu kubamemba baakyo nga bano bakikiridde Ssenkulu waakyo Lubowa Ssebina Gyaviira ku mukolo gwa MDD ogwa Masaka Citizens Secondary School.
Ku Mukolo guno, ayogeredde ekibiina yebaziza nyo abasomesa, abayizzi ssaako nabatandisi besomero lino olwomulimu omulungi gwe bakoze mu Nyendo Mukungwe, Mpugwe. Ono abategezeeza nti ekibiina kyakusiggala nga kikolagana nabo bulungi mu byenjigiriza, ebyemizanyo n’ebyobulamu nga bwegubadde.
Mwami Matovu ayanjulidde ab’e Mpugwe entekaateka ez’enjawulo okuva mu Kibiina kya Lubowa Ssebina Foundation omuli ne bbanguliro ly’ebyemikono erya Saloon ne Metal Crafting ebiwereddwayo mu kitundu kino, omukulu amaliriiza okwogera nettu eribadde mu bbaasa nga liwereddwayo Rtn. Lubowa Ssebina Gyaviira okuyambako okutambuza emirimu ku ssomero lino.